Police mu district ye Bukomansimbi ekutte abamu ku bakozi ku kitebe kya district eno, ku bigambibwa nti bandiba nga balina kyebamanyi ku bunyazi obwakoleddwa ku kitebe, computer kika kya laptop 6 baakuliise nazo.
Kiteberezebwa okuba nti abakoze obunyazi buno olwayingidde munda mu kitebe kya district,baakozesezza eddaala, olwo nebagwa munda mu kisenge kya store za district.
Computer 6 ezabbiddwa zibadde zakuwebwa ekitongole ekikola ku by’ensimbi n’okuteekerateekekra district, era zibadde zigenda kuyungibwa ku system ya Uganda okusasulibwa abakozi.
Abakozi abakwatiddwa bawerako,nga abasidnga baziimbi abalude nga bayoyoota ekitebe kya district ate abalala bakozi abavunanyizibwa ku store za district.
Bonna kati bakumibwa kukitebe kya district nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Ssebuufu Mubarak Junior