Eddwaliro lya Kibiri Medical Central e Masajja mu Wakiso litubidde nómwana owólunaku olumu, nnyina bweyamaze okumuzaala namuleka mu ddwaliro teyakomyewo.
Abakulu mu ddwaliro lino bagamba nti bafunye omukyala nga yeyita Namuliira Babirye eyazze okuzaalira mu ddwaliro lyabwe mukiro ekyakeesa olwókusatu era nasumulukuka bulungi.
Obudde olwakedde ku makya yalabirizza abasawo n’abulawo omwana yamulese mu ddwaliro.
Namirimu Oliva omusawo muzaalisa mu ddwaliro lya Kibiri Medical Centre agambye nti Namuliira bweyabadde yakatuuka yabagambye waliwo abantu be abajja okumulabirira ng’azadde era nti bebaabadde bajja ne sente z’obuzaalisa, wabula nabo tebaalabiseeko.
Yagambye nti kitaawe w’omwana ye Isma Bogere muvuzi wa bodaboda.
Omukyala nti era yabagambye nti yavudde Buikwe n’azaalira e Kibiri mu Wakiso.
Ensonga zino abakulira eddwaliro bazitutte ku police ye Kibiri.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif