Police mu kibuga Mbale eggalidde abayizi 13 ab’essomero lya Mbale SS ,ebalanze kwonoona bintu bya Bantu bwebabadde bekalakaasa.
Abakwate bano kigambibwa nti babadde baasindikiddwa awaka banone ebisale by’essomero, kyokka olufulumye nebayingira ekibuga batandise kuyimiriza mmotoka z’abantu zebasanze mu makubo ,omubadde n’okuzonoona.
Bangi bataddeko Kakokola tondeka nnyuma oluvannyuma police bweyitiddwa netandika okugobagana nabo, nga kati bawenjezebwa bavunaanibwe.
Ayogerera police mu bendobendo lya Elgon Rogers Taitika ,agambye nti abayizi bonna ababadde mu ffujjo lino baakuvunaanibwa emisango omuli okwonoona ebintu byabantu,okwekalakaasa n’emirala.
Bisakiddwa: Kato Denis