Abayizi 2 ab’essomero lya Maryland High School Kaberamaido bafiiridde mu kabenje ddekabusa, bus mwebabadde batambulira etomedde emmotoka endala ebadde ekwamidde ku kkubo ng’etisse emiti.
Abayizi abalala 31 baddusiddwa mu malwaliro nga bamenye amagulu n’emikono.
Akabenje kano kagudde mu kitundu kye Aoja ku luguudo oluva e Soroti okudda e Mbale.
Abayizi bano aba S.6 babadde bagenda Jinja kulambula (study tour), nabadde bapangisizza bus ya Busitema University.
Akolanga omwogezi wa police mu bendobendo lya East Kyoga Tukei John, agambye nti abayizi bangi baddusiddwa mu ddwaliro lya Soroti referral hospital nÓbulwaliro obuli mu kibuga Soroti, némirambo gyábagenzi gitwaliddwa mu kifo kyekimu.
Tukei agambye nti okunoonyereza ku kabenje kano kutandise, wabula ddeereva wa bus adduse, ate conductor we yoomu ku bamenyese amagulu.
Bisakiddwa: Kato Denis