Abaana b’essomero lya Mubende Parents Secondary 65 basimatuse okufiira mu kabenje ka e Bus namba UAM 897C mwebababdde batambulira, eyabise omupiira neegwa e Bulenga okumpi ne Kampala.
Abayizi b’essomero bano babadde batambulira mu bus 2, nga bagenda kulambula ku mwalo gwe Kasenyi e Ntebbe.
Zzimbe Ibrahim abadde avuga bus endala agambye nti bus efunye akabenje, esoose kufuna kizibu nga tekyasiba bulungi na mukka, sso nga wabaddewo akalippagano k’ebidduka.
Ddereeva waayo asazeewo agisimbe emabbali g’ekkubo okumpi n’ekitundu ekimanyiddwa ku Musoke Bulenga, gyasanze ekintu ekifumise omupiira n’egugwaamu omukka ate nga wabaddewo akayiringiito ekigireetedde okugwayo.
Omwana omu akoseddwa nnyo era emmotoka ya police emuggyewo n’emuddusa mu ddwaliro e Mulago.
Abaana abalala abafunye obuvune obutonotono batwaliddwa mu malwaliro agaliranyeewo okufuna obujanjabi obusookerwako.