Abayizi abawala 3 bebaakazaalira mu kiseera ky’okukola ebigezo bya S.4 (UCE ) ebigenda mu maaso okwetoloola eggwanga.
Mu wiiki esooka omuyizi omu yeyazaala, n’abalala 2 bebazaalidde mu wiiki eyokubiri.
Ayogerera ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB, Jennifer Kalule-Musamba, agambye nti abawala ababiri omu wa mu district ye Kabale ate omulala wamu district ye Gulu.
Owe Kabale omwana we gweyazadde omulenzi yasazeewo okumutuuma Odongo, okumubbula mu akulira ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB Dan Odongo.
Kalule-Musamba agamba nti abayizi bano abazadde bayongeddwamu akadde ka ddakiika 45, okubasobozesa okumalayo ebigezo byabwe, era UNEB eragidde abalondoola ebigezo n’okubikuuma okubakkiriza okufuluma bagende bayonse abaana bwewabaawo obwetaavu.
Omuwala we Kabale yazadde ku saawa bbiri ezokumakya, so ng’ekibuuzo mya Physics kyeyabadde agendamu kyabadde kitandika ku ssaawa 3, ate munne owe Gulu baamulongoosezaamu omwana mu budde obw’ekiro, ku makya n’asobola okugenda okukola ekigezo kya Chemistry eky’obwoleke.
Abayizi emitwalo 364,400 bebeewandiisa okutuula ebigezo byomwaka guno 2023.
Bisakiddwa: Ddungu Davis