District engineer wa District ye Wakiso Mwesigwa Sam alabudde banna Wakiso nabantu abakozesa amakubo naddala agayita mu bitundu omusala omugga Mayanja okuba abegendereza mu biseera bino ebyenkuba etonnya.
Mwesigwa ategezezza nti basanga okusomoozebwa buli enkuba lw’etonnya olw’omujjuzo ogutanaba kusalirwa magezi ga nkalakkalira ekiviirako omugga okubooga amazzi negasalako amakubo.
Agambye nti abantu abóngera okusaalimbira mu ntobazi bebasinze okuviirako okutaataaganya entambula y’amazzi.
Alabudde abantu abatambula ekiro okubeera abegendereza obutatwalibwa mazzi. #
Bisakiddwa: Kibuuka Fred