Okusabira Ssaabasajja Kabaka mu masinzizo ag’enjawulo olw’okwebaza Katonda okumutuusa ku myaka 70 egy’ekitiibwa kutandise.
Abaddu ba Allah Ababayisiraamu mu Mizikiti egy’enjawulo mu Masaza ga Buganda be bagguddewo enteekateeka eno.
Ku muzikiti omukulu e Kibuli, obubaka bwa Katikkiro busomeddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Prof Twaha Kaawaase Kigongo.
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, ayozaayozezza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olw’okuweza emyaka 70 egy’ekitiibwa neyeebaza Katonda olw’obulamu bw’awadde Omutanda ne byamusobozesezza okutuukako.
“Tusaba abantu ba Buganda bulijjo okusabiranga Kabaka Katonda amuwangaaze, ayongere okutulambika mu bukulembeze, Buganda yeyongere okuyitimuka” – Katikkiro Mayiga
Kamalabyonna agamba nti nga tuli mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko, era kisaanidde okwongera amaanyi mu kwetangira endwadde ez’enjawulo naddala mukenenya.
Agambye nti Ssaabasajja Kabaka wamu ne government ye essira balitadde nnyo ku by’obulamu omuli; okutegeka emisinde mubunabyalo egikulembera omukolo gw’okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka era ng’emisinde gino gitegekeddwa ku miramwa egy’enjawulo n’okujjanjaba abantu ba Buganda.
Annyonyodde nti mu kaweefube w’okujjanjaba abantu ba Kabaka, Ssaabasajja yatandika okuzimba amalwaliro mu masaza, era nga yatandikira Mukungwe mu Buddu, Nnyenga mu Kyaggwe, ne Busimbi mu Ssingo, era mu kaweefube ono ekizimbe ky’eddwaliro ly’e Busimbi kyatongozeddwa nga 8 April,2025.
Akubirizza abantu okutegeera n’okunywerera ku nsonga Ssemasonga ettaano, kubanga ziwumbawumba byetwettanira ne byetukkiririzaamu ng’eggwanga awo kyetuva tubiyita “EBYAFFE”, abantu bwe banaatambulira ku Ssemasonga ezo, Buganda ejja kudda ku ntikko mu mulembe guno.
Edduwa y’okusabira Ssaabasajja ekulembeddwamu Super supreme Mufti Muhammad Ggalabuzi.
Yeeyanzizza Ccuucu Musota olw’enteekateeka zonna zataddewo eziyamba abantu bonna awatali kusosola, naawanjagira Munyaazimungu amwongere obulamu obulungi.
Okusaba kuno kwetabiddwako Jajja w’obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu.