Abayisiraamu bakyusizza ennaku z’Okusabira n’okujjukira Abajulizi Abasiraamu okuva ku naku z’omwezo 01 June kati bakubasabiranga edduwa nga 10 June buli mwaka.
Prof Badru Kateregga nga yeyakulemberamu Omulimu gw’okusomesa ebyafaayo ku basiraamu bano abattibwa olw’eddiini, agambye nti basazeewo okukyusa ennaku okusobola okumalawo eky’okubafananya abenzikiriza endala, n’enteekateeka zabwe nezibulira mu nnaku ezo.
Prof Badru Kateregga ategezezza nti Abasiraamu babaddenga buli 1.06 basabira banabwe abasiraamu abattibwa olw’eddiini yabwe, wabula omulundi guno basazeewo okukyuusa olunaku luno.
Buli nga 03 June aba protestant saako abakatoliki bajjukira okuttibwa kw’abajulizi abafiirira ediini era nebalamaga e Namugongo, ate nga 01 June, abasiraamu nabo kwebabadde nga basabira baanabwe abattibwa olw’eddiini edduwa.
Prof Badru Kateregga agambye nti abajulizi abasiraamu nabo balina ebyafaayo babwe byebalina okutegeeza abantu babimanye, nga bwekiri ku nzikiriza endala.
Dr Ziyadi Lubanga nga yakulira Sharia ategezezza nti abajulizi oba ba Shahiidi mu Busiraamu, Nabbi Muhammad ne Quran yabogerako, era erambika engeri gyebalina okusabirwa.
Bagamba nti ngo’oggyeko abasiraamu abattibwa ku mu Buganda, bakugattako n’abantu abalala abattibwa olw’eddiini yabwe gamba nga abattibwa e Mbarara.
Oluvanyuma lw’obusiraamu okutuuka mu Buganda eyo mu myaka gya 1844, waliwo abasiraamu abasoba mu 100 abagambibwa nti battibwa ng’abajulizi abalala, olw’okujeemera obukulembeze obwaliwo mu biseera ebyo.
Okusomozebwa okuliwo mu nteekateeka y’okujjukira abasiraamu abo, kwekwawula abazira b’obusiraamu abattibwa olw’eddiini yabwe ku bantu abalala abaalina ebigendererwa byabwe era nti obusiraamu tebukkiriririza mu kyakusaba nga bayita mu bajulizi nga bweguli, era nti kino kyaleetawo okusika omugwa saako abamu kubasiraamu okukiwakanya.
Bisakiddwa: Hajji Ntale Yunus