
Ekkanisa ya Uganda mu bulabirizi bw’e Namirembe n’e Luwero bukoze enkyukakyuka mu baweereza b’ekkanisa.
Omulabirizi we Luweero Bishop Elidad Nsubuga akoze enkyukakyuka z’abaweereza 12 ssonga omulabirizi Luwalira akoze enkyukakyuka z’abaweereza 13.
Abakyusiddwa e Luwero kuliko Rev. Twesigye Herbert agiddwa e Nakasongola n’atwalibwa e Nabiswera ng’omusumba, Rev. Kabuye Gideon abadde mu busumba bw’e Bbosa ye awumudde emirimu.
Rev. Mukama Livingstone atwaliddwa mu busumba bwe Bbowa kyokka nga akyakwanaganya emirimu gya mission ku diocese, Rev Deacon Sejjobyo George William ajidwa e Luteete naatwalibwa e busumba bwe Bombo.
Rev. Capt. Nsimbe Patrick agiddwa ku Ssaku SS n’atwalibwa ku ssomero lya Luteete SS nga chaplain era wakukola ng’omumyuka wa Vicar ku diocese e Luweero.
Rev Samuel Zziwa wakukola nga Principal wa Bible College y’e Luteete era ye musumba w’e Buzibwera, ate Rev. Paul Mutyaba abadde omumyuka wa Vicar ku lutiiko e Luweero agenze ku misomo.
Rev. Dan Buzaranwa mu busumba bw’e Ngoma atwaliddwa mu bwe Mpigi, Rev Ssemaganda Stephen, abadde Chaplain mu ddwaliro ly’e Kiwoko atwaliddwa mu busumba bw’e Ngoma era yoomu ku bamyuka ba vicar era y’atwala eby’obulamu ku kitebe kya lutikko e Luweero.
Rev William Mirimu okuva mu busumba bw’e Mpigi atwaliddwa mu ddwaliro e Kiwoko nga chaplain, Rev Mabiriizi Daniel Nsereko agiddwa e Bombo n’atwalibwa mu busumba bw’e Katikamu, ssonga Rev Dan Mwesigwa abadde e Katikamu aweereddwa obu Ssaabadiikono w’e Kikyusa.
NAMIREMBE:
Rt. Rev. Bishop Wilberforce Kityo Luwalira, akoze enkyukakyuka mu bakulembeze b’ekkanisa ez’enjawulo mu bulabirizi bw’e Namirembe.
Abakyusiddwa kuliko Rev. Abraham Muyinda abadde e Bweyogerere kati ye Vicar ku lutikko e Namirembe.
Rev. William Kyeyune, abadde vviika kati atwaliddwa Kiteezi nga adda mu bigere bya Ssebina Semeyi Ssekiziyivu atwaliddwa Namayumba ssonga abadde e Namayumba Rev. Lumu aziddwa Namirembe ng’omubeezi wa vicar.
Rev. Edward Steven Kabanda abadde ku lutikko ng’omubeezi wa vicar, atwaliddwa Kiryagonja, ssonga Rev. Daniel Sserumbaawo abadde e Kiryagonja atwaliddwa Kkungu.
Rev. Moses Kakembo agiddwa e Kkungu n’atwalibwa e Bweyogerere, ne Rev. Joseph Luvumu abadde ku St. Peters Kalitunsi, Kyebando atwaliddwa Mutundwe.
Rev. Kisaakye Ntale agiddwa e Mutundwe n’atwalibwa e Nsangi nga adda mu kifo kya Rev. Daniel Ddumba eyawumudde.
Dr. Kimanje Emmanuel abadde chaplain w’e Buddo, atwaliddwa okutandika obusumba bw’e Kawaala
Rev. Kalema abadde e Kawaala, atwaliddwa mu kannisa y’e Kabale mu busumba bw’e Ntebe.