Akulira ebiweerezebwa ku mpewo za Cbs Abby Mukiibi Nkaaga asomozeza abavubuka okweyambisa ekitono kyebabeera bafunye okukyuusa obulamu bwabwe okusinga okwejalabya mu bitabagasa.
Bino abyogeredde ku mukolo gw’okukwasa ebirabo eri abawanguzi bakazannyo ka Bingwa wama Bingwa, Bingwa Extra ne Bingwa Totto era asiimye ne banamikago ababakwatiddeko okuva akazannyo kano lw’ekaatandika.
Bbingwa yetabwamu abantu abasobola okuddamu ebibuuzo ebikwata ku by’emizannyo ebyenjawulo, munda mu ggwanga n’ebweru.
Abawanguzi abakwasiddwa ebirabo byabwe kuliko Simbwa John Mary ne Byekwaso Hilary aba Team Katosi abaawangula mukazannyo k’ebibinja aka Bingwa Extra, era bano bakwasiddwa obukadde bwa shs 2.
Ismail Mayanja ne Kasoma Hassan aba Team MK abakwata eky’okubiri nabo bakwasiddwa akakadde kalamba.
Ku mutendera gw’abaana ogwa Bingwa Totto eyawangulwa Ssenono Clive, akwasiddwa school fees w’akakadde 1,500,000/=.
Kambugu Rayan ey’akwata eky’okubiri akwasiddwa akakadde kalamba, ate Sekandi Isaac ey’akwata eky’okusatu afunye emitwalo gye 500,000/=.
Bingwa wama Bingwa yawangulwa Ntege Salim era ono naye akwasiddwa ekyapa ky’ettaka 50*100.
Sekalongo Moses eyakwata eky’okubiri akwasiddwa obukadde 2,500,000/=.
Mujabi Abdul eyakwata eky’okusatu akwasiddwa akakadde 1,500,000/=.
Ntambi James akulira ekitongole ky’ebyemizannyo ku CBS, agambye nti kumulundi guno abameganyi bonna babadde bamaanyi era omwaka ogujja basuubira ab’amaanyi abalala.
Bisakiddwa: Kiyengo David