Police e Kabalagala enunudde abawala musanvu abagambibwa nti babadde bakukusibwa okutwalibwa mu mawanga ga Buwalabu okukuba ekyeyo.
Police y’ebidduka e Kabalagala yeyimirizza emmotoka namba UBL 365 C ebadde etisse akabindo, mwebasanze.
Kitegeeekese nti Driver w’emmotoka eno Kiwanuka Abdallah agibuseemu nadduka.
Abawala bano abataano babadde bava mu district ye Namutumba, ate abalala ababiri mu district ye Ntungamo.
Amyuka omukwanaganya w’enteekateeka z’okulwanyisa okukukusa abantu mu ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga, Agnes Igoye alabudde bannansi abagala okugenda okugenda okukuba ebyeyo okuyitanga mu makubo amatuufu, ne kampuni ezawandiisibwa mu mateeka.
Mu ngeri yeemu, nnyini kampuni eyawerebwa government eyali etwala abantu e Mitala w’amayanja eya Eagles Supervision, Bob Nankunda akwatiddwa naggalirwa ku police e Lungujja nga kigambibwa nti abadde afera abantu ensimbi ng’abasuubiza okubatwala so nga kampuni ye yawerebwa dda.
Abantu bataano bebabadde bakeekubira enduulu ku police,nga bagamba nti abadde abaggyako shs obukadde butaano (shs 5m), naye bakanda kulinda naye tabatwala.
Bisakiddwa: Kato Denis