Ekibinja ky’abavubuka n’abayizi abasoba mu 150 bayisizza ebivvulu nga balaga okusiima kwabwe eri parliament ya Uganda ne president Museven olwókuyisa etteeka erirwanyisa ebisiyaga.
Abavubuka bano bakumbye mu mirembe nga boolekera parliament ya Uganda.
Abavububaka n’abayizi bano abavudde mu Universities 13 basumbudde ku Emerald Hotel e Wandegeya webasoose n’olukungaana lw’abamawulire wakati mu bukuumi okuva eri Police.
Bababadde bakulembeddwamu Dr. Kamukama Godfrey bebazizza parliament ne president Museven olw’okulaga obuvumu naateeka omukono ku tteeka erirwanyisa ebisiyaga wadde nga waliwo okutiisibwatiisibwa kungi.
Basekeredde abantu abaddukidde mu kkooti okuwakanya etteeka lino.
Ekitongole byámawanga gébweru, America ne Bulaaya bivumiridde Uganda olwókuyisa etteeka erirwanyisa ebisiyaga, ebimu biggaddewo wofiisi zabyo mu Uganda, ebirala bitiisizzatiisizza okulekeraawo okugiwa obuyambi.
Bisakaiddwa:Mukasa Dodovico