Police ekubye omukka ogubalagala okugumbulula abatuuze be Butamiira mu gombolola ye Buyengo district ye Jinja, babadde balumbye abalombe abaasa amayinja nga bakozesa bbaluti zebagamba nti zibamazeeko emirembe.
Abatuuze.bagamba nti bbaluti zigenda kusuula.enju zabwe nti era zonna zijjuddemu enyaafa, ebisolo byabwe tebikyakuza mawako, awamu n’abakyala abawerako nti bavuddemu embuto olwa bbaluti ezo.
Kigambibwa nti Sentebe wa district ye Jinja Moses Batwala ne councillor Akalyaamawa bakwatiddwa, nti nga bebamu ku babadde bekalakaasa olwa bbaluti ezo.
Omwogezi wa police mu kitundu kino ASP Mubi James agambye nti bannabyabufuI bebakumye omuliro mu bantu bekalakaase era nti abamu bakwatiddwa.#