Abatuuze be Naalya mu Kira municipality mu Wakiso district beekumyemu ogutaaka nebamenya geeti eyateereddwa ku kkubo eriyingira mu Estate ye Naalya, ku bigambibwa nti obumenyi bw’amateeka bubadde bususe saako emmotoka endala ezirikozesa ezisusse okuboononera ekkubo nga zitema ku traffic jam abeera ku nguudo eziriraanyeewo.
Wabula abatuuze abalala abakozesa ekkubo eryo abatasula mu estate, basazeewo okwekolamu omulimu nebamenya gate eyabadde eteereddwa kkubo lino, nga bagamba nabo lyebalina okulikozesa.
Abamu kubakulembeze b’ekitundu kino nga bakulembeddwamu abakiikirira ku district e Wakiso John Mark Musoke bagamba nti bazeenga beekubira eddulu eri abakulu mu municipalitynaye nga efuuse kyesirikidde, abatuuze kwekusalawo okuggulawo ekkubo eryo ku kifuba.
Police wetuukiddeko mukifo kino ng’abatuuze bamaze okumenyawo geeti bagenze, era terina gwekutte.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo