Abatuuze be Jinja bekalakaasirizza ku ddwaliro lya government e Jinja nga bawakanya eky’okutunda ekitundu ku ttaka ly’eddwaliro.
Abatuuze ababadde abakaawu bagamba nti bakooye okutunula obutunuzi nga buli ttaka eririko ebintu ebigasiza awamu abantu nga litundibwa nebasaba abobuyinza baveeyo bayingire mu nsonga okutaasa ettaka ly’e ddwaliro.
Banenyezza ne Minister omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja eyeeyingiza mu nsonga z’ettaka lino nga 12 March,2024 nalagira abasiraamu batwale ekitundu ku ttaka ly’eddwaliro.
Ettaka lino lisangibwa ku Plot 31 – 19 Bax Road mu kibuga Jinja.
Abatuuze bagamba nti ensonga z’ettaka eririko enkalu zasalibwaawo dda eyali omulamuzi wa Kooti enkulu e Jinja Mike Elubu mu mwaka 2009, nga lya ddwaliro.
Akukira akakiiko akafuzi ake ddwaliro lye Jinja Dr. David Mukisa asinzidde mu banamawulire ku ddwaliro nanenya Minister Mayanja okumenya amateeka naagabira abasiraamu be Jinja ettaka ly’e ddwaliro so nga nalyo liryetaaga okugaziya obuweereza obwenjawulo.
Mukisa agamba nti ye nakakiikoke baliko enteekateeka eyamaanyi gyebagenda okuteeka ku ttaka lino, nanokolayo ekifo ekya Blood Bank, Cancer Unit, sitoowa y’eddagala n’okwongera okulakulanya eddwaliro.
Agambye nti baamaze okuwandiikira Minister w’ebyobulamu Dr. Ruth Acen nga bamusaba ayingire mu nsonga eno.
Bisakiddwa: Kirabira Fred