Abantu abatanamanyibwa ababadde balina ebijambiya n’emmundu balumbye ekyalo Mulambaalo ekisangibwa mu gombolola ye Namungo mu district ye Mityana batemye abantu.
Kakooza Fred nga y’omu ku bakoseddwa asangiddwa mu ddwaliro e Mubende janjabirwa, agambye baafulimye ebweru mu kiro oluvanyuma lw’okuwulira embwa nga ziboggola nnyo, gyebaagwiridde mu kibinja ky’abasajja abalina ebijambiya nebamutema omukono kumpi kwagala kugukutulako.
Kakooza agamba nti obulumbaganyi buno bwandiba nga bwekuusa ku ttaka.
Kansala Kenneth Walakkira akiikirira omuluka gwe kiteete ku lukiiko lw’e Ggombolola ye Namungo nga naye mutuuze ku kyalo kino Mulambaalo, agambye nti ekyamukubye enkyukwe kwekuba nti wadde nga baakubidde ab’ebyokwerinda okubadduukirira, baabategeezezza nti baabadde tebalina buyambi bumala.
Abatuuze balumiriza nti waliwo omukyala gwebaludde nga bagugulana naye ku ttaka okuva mu mwaka 2012, era nti baamuwangula mu kooti e Mubende, nga yandiba nga yabasindikira abantu okubatusaako obukabe.
RDC w’e Mityana Prossy Mwanjuzi agambye nti batandise okunoonyereza okulaba nga bazuula ekituufu ekivaako akabasa.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi