Government eyisizza ebiragiro ebiggya eri abalunzi n’abasuubuzi, anaakwatobwa ng’atunda ente etagemeddwa kirwadde kya Kalusu wakusibira mu nkomyo.
Olukiiko lwaba minister olubadde lukubirizibwa president Yoweri Kaguta Museven, lulagidde mu bwangu obw’ekitalo government egule ddoozi z’eddagala erigema ebisolo eriwera obukadde 10 ligeme ensolo naddala mu district z’obukiika ddyo bwa Uganda ezirimu kalusu.
Minister omubeezi ow’eby’amagana Bright Rwamirama agambye nti ebiragiro byonna ebyayisidwa olukiiko lwaba minister bitandikirawo okukola, era nga kati omuntu asangibwa ng’atunda ensolo ye nga singeme kalusu emyaka 7 gyagenda okumala mu komera.
Wabula agambye nti wadde nga government yegenda okuleeta doozi ezo n’okulitambuza, naye abalunzi balina okulisasulira.
Ba minister era basazeewo nti wassibwewo omutemwa gw’ensimbi, ogunaagulanga doozi z’eddagala erigema amagana, wakiri emirundi 2 mu mwaka.
Omuntu yenna anatunda ensolo wakusookanga kuleeta bukakafu obulaga nti yagemebwa.
Bisakiddwa: lukenge Sharif