Ministry y’eby’obulimi etaddewo obukwakulizo obupya ku by’obulimi ebifulumizibwa eggwanga okutwalibwa mu nsi endala, kati by’akusooka kukeberebwa omutindo, n’okuwebwa certificate ebikkiriza okusaabazibwa naddala ebyo ebiyitira ku kisaawe Entebbe olw’ekigenderwa ky’okwewala ebitatuukanye na mutindo.
Ministry egamba nti Uganda ekoseddwa nnyo akatale kaayo olw’ebimu ku bikozesebwa mu by’obulamu n’obulunzi ebitatuukanye na mutindo, ekijiviiriddeko n’obutale bwayo nga mu Bulaaya okufa.
Ministry era egamba nti kino era ekikola okusobozesa kampuni ezaawandiisibwa mu mateeka zokka okwenyigira mu nteekateeka ey’okusuubuza eby’amaguzi ebweru, omuli ebibala, ebimuli, enva endiirirwa kuba kampuni ezo zaalambikibwa obukwakkulizo bwezirina okugoberera ekitali ku kampuni ndala.
Mu kiwandiiko ekiteereddwa omukono gw’omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’obulimi, Maj. Gen. David Kasura Kyomukama, ebirime ebifuluma byakukeberebwanga ku kisaawe e Ntebbe, ebitatuukanye na mutindo gulambikiddwa ssibyakukkirizibwa kufuluma ggwanga, nti kubanga byonoona akatale ka Uganda mu nsi endala.