Ba ssentebe b’ebyalo 11 abakola omuluka gw’eKiti e Bukulula mu district y’eKalungu bayisizza ebiragiro mwebaweredde abasuubuzi bonna obutaddamu kutambuza nte mu kitundu ekyo, okusukka essaawa emu ey’akawungeezi.
Nga bakulembeddwamu Sserunkuuma Bossa Kiyingi bagambye nti obubbi bw’ebisolo bususse mu kitundu, nga buli wiiki abatuuze babbibwako ezitakka wansi w’ente 3.
Basazeewo nti bagenda kulondoola nga stamp ezissibwa ku permit mu bitundu gyezisalibwa naddala mu kibuga kye Lukaya.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru