Government ng’eyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku ndaga muntu mu ggwanga ekya National Indentification regulatory Authority [NIRA] erabudde nti siyakuddayo kugabira bantu ebbaluwa ezóbuzaale, okutuusa nga bamaze okufuna endaga muntu z’eggwanga.
Enteekateeka eno engiramu abantu abakulu n’abaana abato abakazaalibwa.
NIRA egamba nti omuwendo gw’abantu abakyusa emyaka okufuna Visa ezibatwala mu mawanga ge bweru, abazadde abafumbiza abaana abatanetuuka, saako abakozi b’ebikolobero abakyusa amannya n’emyaka guli waggulu, ng’entabwe evudde ku nteekateeka etali nambulukufu ebadde eyitwamu okufuna ebbaluwa ezóbuzaale.
Faridah Nassozi omukwanaganya w’ekitongole kya NIRA nábantu ba bulijjo ategezezza nti enkola eno etwaliramu nábaana abakazaalibwa okuva ku lunaku 1 bonna bakusooka okuwandiisibwa okufuna NIN nga tebanafuna bbaluwa za buzaale.
Nassozi agambye nti batandise kaweefube w’okwongera okusomesa abantu okuyita mu nteekateeka ez’enjawulo, basobole okufuna endagamuntu, nti kubanga boolekedde okutaataaganyizibwa mu kufuna obuweereza obwenjawulo nga tebalina biwandiiko bituufu bibakwatako.
Mu ngeri yeemu Nassozi era asabye abantu bonna okujjumbira Omwoleso gwa Cbs Pewosa ogutandika nga 5th okutuusa nga 11th Omwezi ogujja mu Lubiri e Mengo okubangulibwa ku nteekateeka zino, ne ndala ezikwata ku ndagamuntu zabwe.
Bisakiddwa: Ssebuliba William