Omumyuka wa Sipiika wa parliament Thomas Tayebwa alagidde minister wa Kampala Minsa Kabanda ne KCCA okutandiika okulondoola bannyini bizimbe n’amasomero gonna agagambibwa nti gata kazambi nakulukutira mu mu myala buli enkuba lwetonnya.
Tayebwa ategeezezza nti amasomero nabantu okuta kazambi nga enkuba etonnya ky’ekimu ku bintu ebisinze okuleetera omuwendo gw’abantu ba Kampala abalina edwadde eziva ku bukyafu okweyongera.
Sipiika agategeezezza minister ne KCCA nti amasomero gonna n’abantu abasangibwa nga benyigira mu kuta kazambi balina okugakangavula.
Omumyuka wa Sipiika okulagira bwatyo kidiridde omubaka omukyala owa district ye Tororo Sarah Opendi okwemulugunya eri parliament nti afunye okwemulugunya okuva eri abatuuze be Kabowa n’emiriraano nti waliwo amasomero agata kazambi nagenda mu bantu ng’ekuba etonnya ekireetedde abantu abagaliranye okufuna edwadde enkambwe eziva ku bukyafu.
Minister Minsa kabanda mukwanukula kwe alemedwa okumatiza parliamenrt era bwatyo nalagira minister agenda bakwatagana KCCA banoonyerezze ku masomero aganokoddwayo my Kabowa n’amalala agali mu Kampala saako ebizimbe ebirala ebiagambibwa nti bita kazambi ng’enkuba etonnya n’akulukutira mu myala.
Bisakiddwa: Ssebadduka Paul