Government ekkaanyizza n’abakulira abasuubuzi okuyimiriza akeediimo kabwe baggulewo amadduuka bakole, nga government bwekola ku nsonga ezibaluma
Abasuubuzi mu kibuga Kampala, Masaka,Mityana Mukono n’awalala bamaze ennaku nga bagadde amadduuka gaabwe, okulaga obutali bumattivu olw’omusolo gwebagamba nti muyitirivu ogubasoloozebwaako saako enteekateeka y’okukungaanya omusolo eya EFRIS ebanyigiriza.
Ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga efulumizza ekiwandiiko ekiteereddwako omukono minister w’ebyensimbi Matia Kasaija ekiraze nti mu nsisinkano eyetabiddwamu minister Kasaija, n’abakulira abasuubuzi kyasaliddwawo nti enkola ya EFRIS egende mu maaso ngeteekebwa mu nkola, wabula ekitongole ki URA kiggulewo Offiisi mu Kikuubo mu Kampala okuyambako abasuubuzi abakalubirizibwa enkola eno.
Kyasaliddaawo era nti government egenda kwongera amaanyi mu kusomesa abantu ebikwata ku nkola eno eya EFRIS.
Mu nsisinkano yemu, kyasaliddawo nti ssenkulu wa URA, akwate kalonda yenna akwata ku basuubuzi ababanjibwa amabanja, n’engassi eva kukyoobutateekesa mu nkola empeereza eno eya EFRIS ,abiwe minister w’ebyensimbi abyetegereze oba nga basobola okusonyiyibwa engassi eyo okuyita mu mateeka.
Okukwasisa engasi eri abasuubuzi abatakozesa nkola ya EFRIS kuyimiriziddwa ,kisaliddaawo nti amaanyi gasooke gateekebwe ku kusomesa abasuubuzi bannyikire enkola ya EFRIS.
Ku nsonga y’okwemulugunya kwabasuubuzi ku bagwiira abeenyigidde mu busuubuzi obwandikoleddwa bannansi, kisaliddwawo nti ministry y’ebyobusuubuzi erungamye mangu ku by’etteeka lya Competition Act liteekebwe mu nkola ,okulungamya abagwiira ku busuubuzi bwebalina nebwebatalina kwenyigiramu mu Uganda.
Government ewadde ebbanga lya wiiki bbiri okukola ku nsonga eziruma abasuubuzi.#