Omusuubuzi omu akakasiddwa okuba nti afiiridde mu bulumbaganyi bw’abagambibwa okuba abayeekera ba ADF mu district ye Kasese.
Attiddwa abadde ne banne abalala 3 nga babadde batambulira ku mmotoka ebadde ekubyeko obutungulu bwebabadde bava okusuubula mu district ye Kisoro.
Abayeekera ba ADF babagwikirizza ku nsalo ye Mpondwe Lhubiriha ku nkulungo ye Katojo ku luguudo lwe Bwera- Kinyamaseke mu district ye Kaseese.
Ebyakazuulwa ku bulumbaganyi buno biraga nti omusuubuzi attiddwa akubiddwa masasi, atr omulala ali mu mbeera mbi addusiddwa mu ddwaliro lye Bwera.
Waliwo omukyala omu asimattuse era ye tatuusiddwako bubune bwonna, so ng’omusuubuzi omu nga musajja ye tanamanyikako mayitire.
Emmotoka kwebabadde batambuliza emmaali yabwe nayo abayeekera bagiteekedde omuliro neebengeya.
Amyuka omwogezi wa UPDF Col.Deo Akiiki agambye nti bayungudde ebibinja by’abajaasi ba UPDF okufeffetta ekitundu ekyo, okuzuula abayeekera bano aba ADF abagambibwa okuba nti babadde 5.
Bisakiddwa: Ssebuliba William