Abantu 6 bafiiridde mu kabenje ka mmotoka kika kya FUSO namba UAX 226 U, egaanye okusiba neegwa ku luguudo oluva e Masaka okudda e Ssembabule.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Kanoni mu gombolola ye Butenga mu district ye Bukomansimbi.
Emmotoka ebaddeko basuubuzi,abakola mu butale bwomubuulo.
Abasinga babadde bava mu Nyendo e Masaka nga bagenda mu katale k’e Bukomansimbi mu town, akabeerayo buli lwamukaaga e Kawungeezi.
Ssentebe w’ekyalo Kanoni Katende Martin agambye,nti bangi ku basuubuzi abataawa bamenyesemyese amagulu.
Police y’e Bukomansimbi ng’eyambibwako abatuuze,basiseeyo abantu emmotoka bewandagazza mu kiwonko, abamu baddusiddwa mu ddwaliro e Villamaria ne Masaka .
Abantu abalala basatu ababadde batwaliddwa mu ddwaliro bafudde, kati omuwendo gw’abaakafa gulinnye baweze mwenda.
Abalala abali mu malwaliro embeera ekyali mbi ddala.
Police ebakanye n’okunoonyereza ekivuddeko akabenje, wabula ddereeva abadde avuga mmotoka eno yadduse era emunonya
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu