Abasuubuzi mu Kibuga Kampala baggadde amaduuka gabwe nga bawakanya enkola yempya ey’okuyitamu okukungaanya omusolo rmanyiddwa nga EFRIS ( Electronic Fiscal Receipting and Invoicing Solution).
Enkola eno yerina okuyitibwamu okukozesa alisiiti eziyise mu kyuma ekikozesa omutimbagano, neziwebwa abantu ababeera baguze ebintu, kiyambe URA okulondoola business engeri gyezikolamu eby’obusuubuzi n’enkungaanya y’omusolo.
Wabula abasuubuzi bagamba nti wadde URA etunuulira musolo gwefuna ku receipt ezo, nti naye besigama ku bintu bingi okutuuka kukusalawo ebbeeyi gyebatundamu ebintu byabwe, nga noluusi babeera tebalina magoba gebafunyeeko.
Bawadde eky’okulabirako eky’ebyamaguzi ebibeera birudde mu maduuka nga bagala okubiggyawo bireme kubafaako, oluusi babeera bagala kufuna nsimbi nga bakozesa emmaali yabwe mu kifo ky’okwewola, oba enkyukakyuka ya season za business ng’omusuubuzi asobola okubitunda ku bbeeyi etaliiko magoba babiggyrwo batunde ebitambula mu season eyo.
Abasuubuzi era bavumirira enkola ezizze ziyitibwamu okukwasisa amateeka g’okukozesa enkola ya EFRIS, nti ebanyigiriza.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya KACITA Tadious Musoke agambye nti ng’abasuubuzi basazeewo okugira nga baggalawo amaduuka gabwe okutuusa lwebanaasisinkana president Yoweri Kaguta Museven bamunnyonyole ensonga zabwe.
Omwogezi wa URA Ibrahim Bbosa agambye nti ensonga ezimu zikyali mu kuteesebwako mu lukiiko lwa ba minister era essaawa yonna bakubaako enteeseganya zebatuukako n’abasuubuzi.
Asabye abasuubuzi obutaggalawo maduuka gabwe mu ngeri y’okukosa ebyenfuna by’eggwanga n’ensolooza y’emisolo.#