Abasuubuzi mu kibuga Kampala balemereddwa okukaanya ku ky’okuggulawo a maduuka gabwe, abamu bagamba gaggulwe ate abalala bagamba bamala kusisinkana mukulembeze wa ggwanga.
Babadde mu nsisinkano gye babaddemu ne Minister omubeezi owa Kampala Kabuye kyofatogabye ku Fairway Hotel mu Kampala.
Minister Kabuye abasabye baddemu bakole emirimu ensonga zabwe nga bwezikolwako, era nga ne minister w’ebyensimbi Matia Kasaija nga bweyabasabye mu nsisinkano gyebaasoseemu.
Wabula ekyokugulawo amadduuka abasuubuzi bakigaanye nti balina kumala kusisinkana president bamunyonyole okunyigirizibwa kwebayitamu.
Ekibiina ekyakulembeddemu akediimo kano ekya KACITA kigamba nti abasuubuzi balemeddeko era ng’abakulembeze kyebagenda okutambulirako
ssentebe w’ekibiina kya KACITA Thadius Musoke agambye nti amadduuka bakusigala nga maggale okutuusa nga basisinkanye president.
Abasuubuzi balina ensonga eziwerako zebagamba zibanyigiriza omuli emisolo emingi, abagwiira abajja nga ba musigansimbi ate nebakola emirimu egyandikoleddwa bannansi, enkola y’okusolooza omusolo okuyita mu nkola y’ebyuma bi kalimagezi eya EFRIS ( Electronic fiscal Receipting and Invoicing Solution) gyebagamba nti tebanamanya nkolq yaago kyokka abagikwasisa babqkubq engassi eyolekedde okubagoba mu business.#