Omuzannyo guno gituumiddwa Abassa n’abassa gwawandiikibwa munna katemba Christopher Mukiibi, era gutongolezeddwa ku National Theatre mu Kampala.
Gwakwetabwamu abamu ku bazannyi bemizannyo gya theatre abakaddiye mu myaka, bakoze n’ekibiina kyebayise Legends of theatre.
Ekibiina kino kirimu ebibina ebyenjawulo ebizze bizannya katemba okuva mu myaka gye 70.
Katikkiro Charles Peter Mayiga mu bubaka bwatisse omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Patrick Luwagga Mugumbule mu kutongoza omuzanyo guno, akubirizza bannakatemba okuzannya ebintu ebireetawo enjawulo eri obulamu bw’abantu nga bya mutindo.
Akulira National theater, Peter Ojede, asinzidde ku mikolo jino naasaba abamu ku bazanyi ne bannabitone abaayitirako mu mikono gya theater eno, okuteeka obutakaanya ebbali bakolere wamu okusitula Art mu Uganda.
Christopher Mukiibi, omuwandiisi womuzanyo guno, agamba nti baagendereddemu okukomyawo ejimu ku mizanyo egyakwata abantu omubabiro nokutereeza ekifanyi kya theater mu Uganda.