Abasomesa mu masomero góbwannanyini mu Uganda boolekedde obutafuna nsimbi obuwumbi bwa shs 30 ezabaweebwa government,olw’okukosebwa omuggalo ogwaleetebwa covid 19.
Ministry of education ekyalemereddwa okukkaanya nékitongole kyobwannakyewa ki GIVE DIRECT, president Museven kyeyalagira okukwasibwa ensimbi ezo kizituuse ku basomesa.
Ministry ye byengigiriza ng’eyita mu bakulira ebyengiriza ku District zonna okwetoloola egwanga, yatandika okuwandiika ebikwata ku basomesa bonna mu masomero agóbwannanyini mu Primary ne Secondary.
Yawandiika Accounts zabwe eza bank ne namba z’essimu basobole okufuna ensimbi zabwe butereevu emitwalo 200,000/= buli musomesa, naye nókutuusa kati tebazifunanga.
Ekitongole ki GIVE DIRECT kyasaba Ministry eweeyo olukalala lw’abasomesa bonna batandike okufuna ensimbi zino, wabula nekizuuka nti abasomesa mu masomero góbwa nannyini bangi tebamanyiddwa mu butongole.
Amasomero mwebasomesa agamu tegalina lukusa lusomesa, n’abalala tebalina biwandiiko bibeeyimirira kubeera basomesa.
Cbs ekitegeddeko nti ensimbi zino zandizzibwayo mu ggwanika ly’e ggwanga, nti kubanga omwaka gw’ensimbi gwolekedde okuggwako, nga bingi ebyali biteekeddwa okukkanyizibwako wakati w’ebitongole ebivunaanyibwa ku nsimbi zino tebinatuukirizibwa.
Minister omubeezi owebyengigiriza ebisookerwako Joyce Moriku Kaducu, agambye nti wakyaliwo ensonga ezitanaba kuttaanyiibwa, abasomesa bafune ensimbi zabwe mu butuufu.
Awadde eky’okulabirako ekya bannyini masomero agamu abaasabibwa enkalala z’abasomesa babwe, abamu nebasaamu ab’empewo, ate abamu ddala baali basomesa naye nga tebalina biwandiiko bikakasa nti basomesa babwe.