Obuwumbi bwa shs 19 bwebwakasasulwa abasomesa ab’empewo mu mwaka gw’ebyensimbi 2021/2022.
Bino bizuuliddwa Ssaabalondoozi w’ebitabo bya government John Muwanga, mu kwekennenya olukalala okusasulirwa abakozi ba government.
Okusinziira ku alipoota eno, abasomesa bano abempewo bali mu masomero ga secondary n’amassomero gebyemikono, era baakozesa ebiwandiiko ebijingirire okutuuka ku lukalala okusasulirwa abasomesa ba government.
Edward Akol director mu office ya Ssabalondoozi w’ebitabo bya government, agambye nti abasomesa bano ab’empewo ssaabalondoozi w’ebitabo bya government yakizudde nti 609 babadde basasulwa ensimbi okumala emyaka 39, nti era abamu banaatera okuwumula egy’obusomesa.
Ssaabalondoozi w’ebitabo bya government era yakizudde nti government yafiirwa obuwumbi 3 n’obukadde 800 mu mwaka 2021/2022 olwabakozi baayo abaasasulwa emisaala nakasiimo akasuka kwako kebaalina okusasulwa nga bano bawera 2355.#