Bya Ddungu Davis
Abasomesa b’amasomo ga science abegattira mu mukago ogwa Uganda Professional Science Teachers’ Union, (UPSTU) balangiridde nti ssibakuddayo kusomesa ssinga government tebongeza misaala nga bweyakoze ku basawo.
Abasomesa bano bagamba nti president Museven yalagira bannascience bonna okwongerwa emisaala, nti wabula okwongeza abasomesa ba science government tekunyegako.
Bannyonyodde nti bazze bekubira enduulu okuva mu mwaka gwa 2018, naye tebafiibwako.
Bakulembeddwamu Elongo Vincent president w’ekibiina kya Uganda Professional Science Teachers’ Union, ku Twin Tower Hotel mu Kampala,nebasalawo obuddayo kusomesa mu lusoma olujja olutandika nga 09 may,2022 okutuusa ng’ensonga yabwe ey’omusaa ekoleddwako.
Balumiriza nti mu mwaka gwa 2018, waliwo obuwumbi 98 obwali bubasuubiziddwa nti bugenda kwongeza ku misaala gyabwe.
Ku nsimbi ezo buli musomesa alina obuyigirize obw’omutendera gwa Degree ngalina okufuna obukadde wakiri 2,200,000/=, ate abasomesa aba diploma wakiri buli mwezi okufuna 1,750,000/-.
Bagamba nti ‘okutuusa nti ssente ezo tebamanyi mayitire gaazo.
Elongo Vincent era mwenyamivu nti gavumenti yalagidde nti tegenda kuddamu kukiriza basomesa abatalina degree kuwandiisibwa kikola, kyokka nti ensasulwa yaabwe terowoozeddwako kimala.
Bano era bagamba nti kaakano eby’enfuna by’eggwanga byeyongedde, kati baagala omusomesa wa sciences, aweza obuyigirize bw’omutendera gwa degree okusasulwa obukadde 4 buli mwezi, ate owa diploma oba omusomesa wa science owa Grade V, asasulwe wakiri obukadde 3 buli mwezi.
Elongo Vincent mu ngeri yeemu agambye nti bagezezaako okwogeraganya n’eministry ekola ku nsonga z’abakozi, tewali kikolebwa.
Mungeri yeemu Mugaiga Aaron, ssabawandiisi w’omukago guno, ne Elongo Vincent, bagamba nti kibenyamiza nti n’olukiiko olulina okukola ku nsonga zabwe mu ministry ekola ku nsonga z’abakozi ba government lumaze emyaka 2 terutuula ekiviriddeko abakozi okubonabona.
Ssabawandiisi w’omukago guno, Mugaiga Aaron, agamba nti ng’abasomesa ba sciences tebagenda kuteekateeka bibuuzo mu masomo ga sciences gonna mu masomero ga government.
Bagambye nti tebagenda kusomesa masomo g’obwoleke (practicals), teri kusomesa Mathematics, biology, chemistry, physics namasomo ga science amalala okutuusa nga governement ebongezza emisaala.