Abasirikale bekitongole kyamakomera abawererera ddala 600 babanguddwa ku ngeri yokusengeka obukonge bwobululu, obunaakozesebwa mu kulonda kwomwaka 2021 bwebunaaba butuusiddwa kuno kampuni 5 engwiira ezaaweebwa contract okukuba obukonge buno.
Omwogezi wekitongole kyamakomera mu ggwanga Frank Baine Mayanja asinzidde ku media center mu Kampala naagamba nti okutendeka kuno kwaakoleddwa akakiiko kebyokulonda.
Frank Baine agambye nti ebbanga lyonna abasirikale bekitongole kyamakomera babadde bakozesebwa okusengeka obukonge bwobululu bwebuba butuusiddwa kuno okuva mu nsi gyebukoleddwa
Ekitongole kyamakomera mu ngeri yeemu kirangiridde nti ekkomera lyabakyaala e Mbarara lifuuliddwa ekifo ekijanjabirwaamu abasibe abakwaaatiddwa ekirwadde kya covid19.
Baine agambye nti ekitongole kyamakomera kibadde kufuna obuzibu obwamaanyi okutambuza abasibe okuva mu bugwanjuba bweggwanga okubatuusa e Jinja ne Moroto, ewali ebifo ewajanjaabirwa abasibe nabakozi bekolitongole kyamakomera mu ggwanga, kwekusalawo nekitundu kyobugwanjuba kifune ekifo ewajanjaabirwa abalwadde.
Abantu 898 mu makomera agenjawulo bebakakwatibwa ekirwadde kya covid19 okuva lwekyaabalukawo mu ggwanga .
Ku bano bakozi bekitongole Kyamakomera 50, 10 baluganda lwabakozi bekitongole kyamakomera Songa 755 basibe .
Frank Baine agambye abakyaalina ekirwadde kino nga bali mu kujjanjabibwa werutukudde olwaleero bali 23.