Ssaabapolice wa Uganda Martin Okoth Ochola agobye abaserikale babiri mu buweereza bwa police, oluvannyuma lw’okuzuulibwa nti babadde beenyigira mu bumenyi bw’amateeka obutali bumu.
Ababiri abagobeddwa kuliko Ampumuza Mabanda abadde akulira police ye Rusheshe mu bendobendo lye Rwizi, yalwanira omukazi mu bbaala naakuba amasasi mu bantu.
Omugobe omulala ava mu bendobendo lye Aswa Julius Twesigye ow’amayinja asatu, yatunuza emmundu mu muserikale munne Aya, nga amulanga kugaana kwongezaayo kiseera, omusibe kyeyali alina okusigala mu kaduukulu ka police.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti tewali musiwuufu wa mpisa mu police agenda kuyinaayina, singa azuulibwa nga attattana ekifaananyi kya police.
Bisakiddwa: Kato Denis