Akulira akakiiko akavunanyizibwa okukuuma bamusiga nsimbi obutabbibwa n’okubuzaabuzibwa aka State House Investors Protection Unit Col Edith Nakalema alabudde bamusiga ensiimbi abagambibwa nti bagaana abakungu ba government okulambula amakolero gabwe nti bakikomye bunambiro, nti kuba abakozi ba government bakwatibwako buterevu okumanya byebakola mu makampuni namakolero gabwe.
Nakalema agamba nti okugaana abakungu ba government okulambula amakolero kikyamu kuba bebalina okumanyisa abantu byegakola n’okwongera okulondoola engeri gyegayambamu okumalawo ebbula ly’emirimu.
Abadde asisinkanye aboogezi b’ebitongole eby’enjawulo mu office ye okubalambululira ku nkola ey’omutimbagano eya Electronic Investors’ Portal eyatongozebwa President gyebuvuddeko.
Nakalaema agambye nti aboogezi bano lutindo lunene mukumanyisa abantu ebigenda mu maaso mu government, nti kubanga bebagyogerera nabasaba okukozesa obukugu bwabwe okutegeeza abantu enkola y’omutimbagano gwa Electronic Investors Protection Portal.
Abamu ku boogezi be bitongole bya government abetabye mu ensisinkano enno, bebazizza akakiiko Col Edith Nakalema olwakawefube gwatadde mukulwanyisa enguzi naddala mu bamusiga nsimbi.
Aboogezi b’ebitongole okubadde ow’ekitongole ekivunanyizibwa kunonyereza n’okusomesa abantu ku byobulimi ki National Agricultural Research Organization NARO, Frank Mugabi ,owekiwooza omusolo ki URA, Ibrahim Bbosa saako amyuka omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira n’abafuluma eggwanga Nakiwala Arithea, basuubiza okutumbula omutimbagano guno abantu basobole okufuna obuweereza mubudde nga tebabiddwako nsimbi.
Nakalema agamba nti bamusigansimbi babadde basanga okusoomozebwa okuva mu bannakigwanyizi ababadyekadyeka nebamaliriza nga babafeze mu ngeri ez’enjawulo, omuli n’okubaguza ettaka ly’empewo, entobazzi n’ebibira.
Agambye nti bakukolagana n’ebitongole bya government ebirala okuli Small Business Recovery Fund, Agricultural Credit Facility Fund, NEMA, KCCA, URSB n’ebirala okukakasa nga bamusigansimbi bakola awatali kutaataaganyizibwa.
Ekitongole kino kyatondebwawo nga 26 July wa 2023 okwanganga okusoomoozebwa bamusigansimbi kwebaali bayitamu n’okukunogera eddagala nga bafuna ebiwandiiko okutandikawo amakolero mu Uganda.
Nakalema agambye nti okuva lwekyatondebwawo, bakafuna okwemulugunya kwa mulundi 186 kwebakozeeko okuva mu bamusigansimbi ab’enjawulo.
#