Abasibe bataano bafiiridde mu kabenje akagudde e Luweero ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Ggulu, mmotoka mwebabadde batambulira bwetomereganye ne ginaayo neyefuula.
Akabenje Kano kagudde ku kyalo Nalongo , mmotoka yekitongole kyamakomera Tata namba UG 363 U ebadde etisse abasibe 54 n’abaserikale 12 etomereganye n’emmotoka Wish namba UBG 587W ebadde edda mu Kampala.
Emirambo gy’abasibe n’abakoseddwa bonna baddusiddwa mu ddwaliro lye Kasana.
Ayogerera police y’ebidduka mu ggwanga Faridah Nampiima, agambye nti akabenje kano kavudde ku mmotoka wish eyabise omupiira.