
Abasibe babiri bafiiridde mu kabenje akagudde mu district ye Lyantonde, n’abalala baddusiddwa mu malwaliro ng’abasinga bali mu mbeera mbi.
Abafudde ye Isheme Willy ne John Kaggwa.
Abasibe bano babadde bakuumibwa mu komera lya Kabula Prison mu district y’e Lyantonde, ng’okugwa ku kabenje babadde batwalibwa kukola ku nnimiro y’omutuuze omu okulima.
Akabenje kano kagudde Lyantonde mu kitundu ekimanyiddwa nga Malongo.
Ayogerera amakomera Frank Baine agambye nti mu mmotoka mubaddemu abasibe 10 n’abasirikale b’amakomera 2, nga babadde batambulira mu mmotoka kika kya Wish No. UBF 972K.
Abafunye ebisago batwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Lyantonde n’abalala nebatwalibwa mu ddwaliro erya Bulamu Medical Clinic mu kibuga kye Lyantonde.
Ababiri Tumusiime Amuza ne Kasibante Kuzairu abadde obubi ennyo batwaliddwa mu ddwaliro e Masaka.