Abasawo mu bibiina okuli ekya Uganda Medical Association, (UMA), Senior House officer, (SHO) ne Federation of Uganda medical interns, (FUMI), bawadde nsalesale wanfa 01 December,2023 okussa wansi ebikola singa governmenf eremererwa okutereeA ensasula y’ensimbi eziweebwa abasawo abakyagezesebwa.
Ba intern bagamba nti ensimbi zebalina okufuna buli mwezi zaasalibwa okuva ku bukadde bwa shs 2 nekitundu, nezidda ku kakadde kamu buli mwezi, nti wabula nazo zijja luvanyuma lwa myezi 2 ekikalubiriza obuweereza bwabwe.
Bagamba nti ensim i zino zebakozesa okusasula gyebasula, okulya n’okutambula.
Dr. Nankya Shanita, amyuka president w’ekibiina kyabasawo abagezesebwa asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire e Mulago, naategeza nti kibenyamiza okulaba nti government tefuddeyo kimala ku mulimu gwabwe n’embeera gyebakoleramu.
Bawakanyizza nekya government okuleeta ebigezo byebanaakola oluvanyuma lwokusoma, nti kigendereddemu kwagala kukendeeza muwendo gw’abasawo mu ggwanga, so ssi kufuna mutindo gwetaagisa nga government bwetegeeza.
Basabye enteekateeka eno etwalibwe mu matendekero gyebasomera baleme okubateeka mu kusasulira ebigezo eby’emirundu ebiri.
Dr Joel Mirembe ssabawandiisi w’ekibiina kyabasawo ekya Uganda Medical Association, ne Dr. Robert Lubega, akulira abasawo ba senior house officer, bagamba nti government esaanidde eteekewo enkola eyokukola endagaano n’abasawo nga bagenda okutandika okugezesebwa kibayambeko okuteekateeka eby’okubasasula.
Ba intern bagambs nti bakozesebwa nnyo mu malwaliro gyebasindikibwa, nga kwotadde n’okujolongebwa n’obutasasulwa nsimbi zegasa.
Wabula ayogerera ministry y’eby’obulamu, Emmanuel Ainebyona, agambye nti abasawo balina okubeera abaguminkiriza kuba gavumenti eriko enteekateeka gyebakolera.
Bisakiddwa: Ddungu Davis