Abasawo mu malwaliro ga gavumneti abegattira mu kibiina ki Uganda Medical Association, (UMA}balangiridde akediimo akatandika nga 22 Museenene 2021, ssinga gavumenti eremererwa okutuukiriza obweyamo bwayo obw’okwongera ku muwendo gw’abasawo mu malwaliro ag’enjawulo, n’okutereeza embeera mwebakolera.
Abasawo bano baagala gavumenti ewandiiseyo abasawo abalala waakiri ebitundu 40%, ku basawo abeetagibwa mu malwaliro ga gavumenti, okwongeza omusaala gw’abasawo abagezesebwa ba yintani, okuva mu mitwalo 700,000 gutuuke ku bukadde 2 n’ekitundu ng’omukulembeze w’eggwanga bweyalagira.
Bagala ne gavumenti eriyirire abenganda z’abasawo abakosebwa mu mu kulwanyisa ekirwadde ki Covid 19 nga bajjanjaba abantu, n’okussa ebikozesebwa mu malwaliro.
Okuteeka wansi ebikola byabasawo kwalina okutandika wamu nabasawo abali mukugezesebwa wabula abasawo mu kibiina kya UMA baali bakyali mu byakulonda bukulembeze buggya.
Dr Andrew Twinamatsiko akulira eby’amawulire mu kibiina ky’abasawo kino, agamba nti abasawo baasazeewo okuteeka wansi ebikola nga 22 November ssinga gavumenti teyeddako ku byebajisabye.
Dr Herbert Luswata, ssabawandiisi wekibiina ekitaba abasawo bano, agamba nti baabadde basuubira ministry y’ebyobulamu okwogera ku nsonga eziruma abasawo mu lukungaana olwayindidde ku imperial Royale Hotel, ne mu lukungaana lw’abasawo olwatuula ssabiiti bbiri eziyise, wabula tebalina bubaka bwonna bwebafuna kuva mu ministry.
Dr Odongo Oledo Samuel, president wekibiina ki UMA agambye nti bagezezzaako okwogeraganya n’abakwatibwako ensonga, wabula tebanafuna kuddibwako kwassimba.
Emmanuel Ainebyona, ayogerera ministry y’eby’obulamu agambye nti ensonga z’abasawo zaatereddwa mu mbalirira y’ennyongereza eyatwaliddwa mu palamneti, nga balina essuubi nti zakukolebwako.
Mu kiseera kino abasawo abakyagezesebwa bawezezza ssabbiiti bbiri nga batadde wansi ebikola, nga banyolwa olw’omusaala omutono ogubasasulwa so president yalagira bongezebweko. Singa bbalaza ejja nga 22 etuuka ng’ensonga tezinagonjolwa n’absawo abakulu nebediima, abalwadde boolekedde akaseera akazibu.
Okwekalakaasa kw’abasawo okubadde kwakasembayo kwaliwo mu mwaka gwa 2017, nga baali bagala bongerwe ku musaala, era gavumneti nebasuubiza okutereeza embeera, naye n’okutuusa kati embeera y’emu yafuuka ga nnyana ganywebwa muwangaazi.
Wabula olunaku lw’eggulo palamenti yayisizza ensimi mu mbalirira ey’ennyongereza mwebategeerezza nti n’ensimbi z’abasawo zebamaze ebbanga nga basaba okubongeza mweziri.
Kati tekimanyiddwa oba nga abasawo banaagenda mu maaso n’akediimo kaabwe oba nedda.