Abasawo ababadde banoonyereza ku kirwadde ekitta abantu mu gombolola ye Kabira mu district ye Kyotera, bazudde nti bulwadde bwa Anthrax bwebwabatta oluvannyuma lw’okulya ennyama y’ente endwadde.
Abasawo okuva mu ddwaliro ekkulu e Masaka n’abakulira eby’obulamu mu Kyetera bamaze ennaku 3 nga banoonyereza.
Abatuuze ku byalo okuli Mayeembe ne Lwamijja mu gombolola ye Kabira mu Kyotera bamaze wiiki 3 nga balaba banabwe bafa kumu kumu, nebatandika okwekubira enduulu mu b’obuyinza nga balowoozanti lyandiba eddogo.
Akulira eby’obulamu mu district ye Kyotera Edward Muwanga agambye nti bakizudde ng’abantu babadde balya ennyama y’ente ezifudde Anthrax, era nga buli kilo babadde bagigula wakati wa shs 5000 – 6000.
Dr.Muwanga agambye nti babakanye ne kawefube w’okusomesa abantu ku kabi akali mu kulya ente rezifudde, ate n’okuddukira amangu mu malwaliro nga bafunye ekizibu, mu kifo ky’okuwanuuza nti ddogo.
Abantu abawerako ababadde balya ente ezaafudde ekirwadde bakyajanjabirwa mu ddwaliro lya Kabira H/C III.
Abantu abakwatiddwa ekirwadde babadde bakubwa ebiyobyo ku mibiri gyabwe,okulumwa embuto,okusesema n’okufuna ssenyuga omungi.
Abantu abasoba mu 12 bebateeberezebwa okufa ekirwadde kya Anthrax mu bbanga lya wiiki bbiri eziyise.
Abasawo bagamba nti ng’oggyeko okulya ennyama efudde ekirwadde kya Anthrax, singa omuntu abeera n’ekiwundu ku mubiri, akawuka akalwaza Anthrax akayitibwa Bacillus Anthracis kasobola okuva ku nte nekamuyingira nga kayita mu kiwundu.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi