Abasawo abagezesebwa basazeewo okussa wansi ebikola oluvannyuma lwa gavumenti okugaana okussa mu nkola ekiragiro kya president okubongeza omusaala okuva ku mitwalo 750,000 okudda ku 2500,000/-.Mu August w’omwaka guno, president yawandiikira ssaabaminisita Robinah Nabbanja okwongeza abasawo bano omusaala kyokka n’okutuusa leero tekikolwanga.President w’ekibiina ekikulira abasawo abegezesebwa ( Intern Doctor) Dr. Nabwire Mary Lilian agambye tebagenda kukyusa mu kyebasazeeewo okutuusa ng’abakwatibwako ensonga eno babawulirizza.Mu ngeri yeemu ne president w’ekibiina ekitaba abasowo n’abajjanjabi mu Uganda ekya Uganda Medical Association Dr. Odongo Samuel agambye nti nabo bawagidde ekisaliddwawo ba intern doctors kubanga nabo kibanyigiriza okukola n’abantu abatali bamativu.