Police eyodde abasawo ab’emulugunya olw’okubakandaaliriza muntekateeka y’okugezesebwa (Internship), saako okugerekebwa ensako eyegasa nti kubanga bakola nnyo ku mutendera gw’okugezesebwa.
Abasawo bano era bawakanya ekiteeso kya ministry y’ebyobulamu eky’okubagyako ensimbi ezisasulwa abasawo abagezesebwa ne ba senior house officers abeyongeddeyo okusoma degree eyokubiri, nti kubanga government terina ssente zakubawa, nokulwawo okubawandiisa mu malwaliro gyebalina okukolera.
Abasawo ku mutendera guno, babadde basasulwa obukadde 2 n’ekitundu buli mwezi buli musawo, kyokka nti government egamba nti terina ssente zakwongera kubasasula nga kati bakukolera bwereere okumala omwaka mulamba.
Babadde bateeseteese okuddamu okulumba Parliament n’ekigendererwa eky’okusisinkana Speaker Anita Among okumanya watuuse ku kugonjoola ensonga zabwe nga bwe baazimutegeeza gy’ebuvuddeko.
Abasawo bano abamu babakwatidde ku ddwaliro e Mulago gyebabadde bakuganidde nebatwalibwa ku Police e Wandegeya, n’abalala babakwatidde ku Parliament nebabatwala ku CPS mu Kampala.
Abasawo bano baalina okutandika okugezesebwa kwabwe kuntandikwa y’omwezi guno ogwa April, wabula omwezi gusemberedde okugwako nga tewali kyakoleddwa ministry yebyobulamu ebatwala nabo kwekusalawo okwekubira enduulu.
Ssabawandiisi w’ekibiina ekitaba abasawo bona mu gwanga ekya Uganda Medical Association Dr Herbert Luswata, agambye nti ministry yebyobulamu erina okukoma okubalaatira mu nsonga z’abasawo bano, nti kubanga embeera eri mu malwaliro buli lukya eyongera kukaluba olw’omuwendo gw’abasawo omutono.
Dr Luswata era ategezeza nti ensonga zino nabo besitula nebazituusa mu parliament era nebaweebwa esuubi ly’okuzikolako, bakanda kulinda tebawulirayo kanyego.
Bisakiddwa: Musisi John ne Kiyengo David