Police mu Kampala ekutte abantu musanvu ku kyaalo Kibiri ekisangibwa ku luguudo lwe Busaabala, lwakuwogganyiza bantu bidondo mu budde obw’ekiro nga bawumuddeko.
Abakwatiddwa bannyini mabaala n’amakanisa.
Abakwate bano basangiddwa nga basaba ekiro ,ate abalala nga bawogganya ebidongo mu budde abantu mwebabeera nga beebase.
Abatuuze bekubidde enduulu eri police, nekola ekikwekweto.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala nemiriraano Luke Oweyisigire, agambye nti ebikwekweeto mu bitundu ebyenjawulo bigenda kweyongera,okumalawo abatyoboola eddembe lyabalala nga bawogganya ebidongo.
Gyebuvuddeko Ssabapoliisi wa Uganda Martin Okoth Ocholla yalagira abaduumira poliisi wonna mu ggwanga, okukola ebikwekweto ku batyoboola eddembe lyabalala nga babawogganyiza ebidongo.