Bannauganda obukadde 12 abawangalira mu byalo abaweza ebitundu 33% bakalubirirwa okufuna amazzi amayonjo, ate abali mu bibuga bali abantu ebitundu 27%.
Ebyalo omutwalo 14,391 okwetoloola eggwanga tebirina mazzi, nga kigambibwa nti kivudde ku kutyoboolwa kw’obutonde bw’ensi.
Ebitongole gya government ebivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi wamu n’abakulembeze ba district ye Wakiso babadde mu nsinsinkano eyategekeddwa ekitongole ekitakabanira eddembe ly’abakyala n’obutonde bwensi ekya Action For Rural Women’s Empowerment (ARUWE) ebadde ku Hotel Africana okukubaganya ebirowoozo kungeri gyebayinza okukolera awamu okutaasa obutonde bw’ensi n’eddembe ly’abakyala.
Catherine Muhumuza omukungu okuva mu ministry y’amazzi n’obutonde bw’ensi agamba nti government eri mu kawefube ekizibu ky’amazzi okukifuula lufumo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, abakyala bawone ekizibu ky’okutindigga engendo nga banoonya amazzi.
Paddy Galabuzi, avunanyizibwa ku kuteekerateekera district ye Wakiso agamba nti nabo nga abe Wakiso essira balitadde kukutaasa obutonde bwensi, era ng’ebitundu 30% ku nsimbi zebafuna okuva mu Banka y’ensi yonna n’ezembalirira ya district balitadde mu kutaasa butonde bwansi.
Atte ye Nakanyike Sylivia Mukasa akyikiridde ekitongole kya ARUWE asabye government naddala ey’amasanyalaze n’obuggaga obw’ensimbo okwongera okulowooza ku nsonga y’okukendeeza ebbeeyi y’amasanyalaze eri waggulu abakyala bakendeeze okunoonya enku n’emanda.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo