Abantu basatu basangiddwa nga bafiiridde mu nju, nábalala babiri nga bataawa.
Babadde batuuze ku kyalo Katugu mu Mubende municipality.
Abafudde abasatu bategerekeseeko erinnya limulimu okuli Hasifa atemera mu gyóbukulu 25 nábaana be babiri Marvin 5 ne Maria 3, ababiri abali obubi ennyo tebanategeerekeka bibakwatako.
Kigambibwa nti bandiba nga bafudde kiziyiro.
Mu nnyumba mwebasangiddwa mubaddemu essigiri eriko omuliro ogwasuze nga gufumba ebijanjaalo.
Ssentebe wékyalo Katugu Kasule Alex agambye nti baliraanwa babagenzi balabye obudde bugenze butuuse mu ttuntu, nga tebaggulawo, kwekusalawo okubakonkona nga teri kanyego. Basazeewo nebamenya ennyumba mwebasanze ngábasatu bafudde, nábabiri nga bataawa.
Baddusiddwa mu ddwaliro e Mubende okufuna obujanjabi wamu némirambo okwongera okujekebejja