Bya fred Kirabira
Police ye Jinja ebakanye nookunoonyereza ku muliro ogwokezza ekanisa y’abalokole eye Mpumudde mu Jinja City, abakkiriza babiri bafiiriddemu.
Ekkanisa ekutte omuliro y’eyomutume Joseph Muwanguzi.
Omudumizi wa police e Jinja ASP Otabong David agambye nti emirambo ebiri gyejakaggibwa mu kanisa eno, nga gyonna gifuuse bisiriiza.
Abagenzi tebanategerekeka mannya, wabula emirambo gyabwe gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Jinja
Abamu ku bantu abaasuze ku kanisa eno nga basinza banyonyodde nti babadde mu kusinza okukeesa obudde , naye bubadde busaasaana nebawulira amafuta agawunya, nekiddiridde gubadde muliro ogukutte ekkanisa.
Omu ku basumba mu kanisa eno Kato George agamba nti byandibaamu ensonga z’e ttaka okutudde ekanisa ekutte omuliro, nti kubanga bekubira dda enduulu mu kooti naye ebadde tennasala musango.