Eggye lya UPDF likutte abantu ba bulijjo bana mu Lubaga municipality, basaangiddwa nébyambalo by’amagye babadde babikozesa okunyagulula bannakampala obudde obw’ekiro.
Abakwate kuliko Sserubiri Richard, Turyamureeba Eliabu, Joseph Ekwaru nÓmulala ategeerekeseeko erinnya limu lya Tamale.
Abana bano basangiddwa nébyambalo byámagye mukaaga, obucupa bwÓmukka ogubalagala, ebyuma ebijingirira dollah za America,passport wamu ne driving permits.
Omwogezi wa UPDF owékibinja ekisooka Maj. Charles Kabona mu kwogerako ne CBS agambye nti abakwate bagenda kusimbibwa mu kooti y’amagye babitebye.