Ekitongole ekivunanyizibwa kukuwandiisa abantu mu ggwanga ekya NIRA kyongedde okutuusa obuweereza obwenjawulo eri abantu abatanafuna ndagamuntu za ggwanga, kiri mu mwoleso gwa CBS Pewosa mu Lubiri e Mengo.
Ku lunaku lwayo okusoose mu mwoleso, NIRA ekoze ku bantu abasoba mu 500, nga baweereddwa obuweereza omuli okubalagirira Endagamuntu zabwe gyeziri abataafuna bubaka,okuwandiisa abapya, okuweebwa Birth Certificate eri abazagala, saako okuwebwa omukisa okubuuza ekibuuzo kyonna kyebagala okutegeera ku bikwata ku ndagamuntu n’ebirala ebikwata ku biboogerako.
Omukungu mu NIRA John Mary Viany agamba nti bagala okuweereza abantu ba Nnyinimu ewatali kulekayo muntu yenna azze mwoleso gwa CBS pewosa, era akunze abantu okweyiwa mu Lubiri.
Abantu bangi bakyeyiwa mu mwoleso omuli n’abayizi b’amasomero okulambula omwoleso bongere okubanguka mu bintu ebyenjawulo, sso nga n’empeereza endala zakusigala nga zigenda mu maaso.
Omwoleso gwa CBS Pewosa gwatandise nga 08 gukomekkerezebwa 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo.m okuyingira omwoleso kwa 5000.#













