Abantu abawerako basimattuse okufiira mu kabenje ku luguudo oluva e Wakaliga okudda mu Kampala, emmotoka Costa bweremeredde omugoba waayo, n’esaabala abagoba ba Bodaboda ne mmotoka endala.
Abantu ababadde mu costa eno abamu bayise mu madirisa nga bagwa ebweru okutaasa obulamu.
Costa Namba UAY 071 D ebadde yakayisa police ye Lungujja, netandiika okutabuka era okukakkana esibidde mu bitundu by’e Mengo okuliraana essomero lya Lyna Day care ne Jakalanda.
Emotooka eno esabadde bodaboda 4 ezibaddeko n’abasaabaze netomera ne Taxi nejonoona,era abatomeddwa baddusidwa mu malwaliro nga balumiziddwa nnyo.
Abamu ku basaabaze ababadde mu Costa eno nga nabo bafunye ebisago olwendabirwamu ezibasaze, bagamba nti ekibawonyeza okufa ye mmotoka eno okutomera mmotoka endala ezikozenga ebiziyiza olwo nesobola okusiba.
Abasaabaze abamu bemuluginyizza ku costa ezikolera ku luguudo oluva e Kampala mu kibuga okudda e Lungujja mu Lubaga municipality okuba nti ezimu nkadde nnyo, kwossa n’abazivuga okubugisa ekimama n’endiima.