Abantu 10 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kibuga kye Kyenjojo, mmotoka ya taxi No.UBR 812 G kika kya drone ewabye neeyingirira bus No.UBE 807 T ya kampuni ya Pokopoko.
Akabenje kagudde mu town ye Kaihura Kyenjojo, nga Taxi ebadde eva Fortportal ng’edda Kampala, ate bus gyeyingiridde ebadde eva Kampala ng’edda Kasese.
Bus kitegerekese nti esiimbudde mu bitundu bye Kampala ku ssaawa nga nnya ez’ekiro ekiyise, ate akabenje kabaddewo nga zikunnukkiriza okuwera ssaawa kkumi n’emu nga bukya.
Omwogezi wa Police y’obuvanjuba bwa Rwenzori Vincent Twesige agambye nti waliwo abantu abaddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi ddala.
Okusinziira ku Karutaro Isaac omu kubasimattuse okufiira mu kabenje kano ng’abadde asaabalira mu bus ebadde edda e Kaseese ,batebereza nti omugoba wa drone yandiba ng’abadde asumagira nga kyekireetedde mmotoka okumuwabako nedda ku mukono ogutali gwayo.
Taxi ekoze akabenje ebadde etisse bakungubazi abavudde ku kyalo Kishami Ruhaama mu district ye Ntungamo, babadde bagenda kuziika e Hoima.#