Abatuuze abasoba mu 2000 ku mwalo gw’e Buganga mu gombolola ye Bussi mu district ye Wakiso beraliikirivu nti bandirumbibwa ekirwadde kya Cholera, olwa kabuyonjo yokka ey’olukale gyebalina mu kitundu okujjula, nti kyandibaviirako okulumbibwa endwadde eziva ku bujama, ol’wbantu abatandise okusaasaanya obubi.
Mu kiseera kino nga namutikkwa w’enkuba efuddemba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, abe Buganda bagamba nti ekirwadde kya Cholera kyandibaddamu envunuula bibya nga bwegwali mu mwaka gwa 2021.
Abakiise b’ekizinga kino kulukiiko lwa district ye Wakiso nga bakulembeddwamu Councillor Sulaiman Ssenkubuge ne Esther Namuyanja bakiise ensingo eri bakulembeze banaabwe abatafuddeyo kwongeza ku nsimbi eziweebwa ebitundu bye Bizinga okutereeza embeera.
Ekitongole kyobwanakyewa ekya Lwazi Mission nga bali wamu ne Hope for the Island child bivuddeyo okukwasizaako ebitundu by’ekizinga Bussi, okubazimbira kabuyonjo ez’omulembe.
Akulira ebitongole bino Joshua Ssenoga akubiriza abakulu mu government okutandika okuzimba kabuyonjo z’amazzi ku bizinga okusiinga okuzimba ez’ebinnya.
Bisakiddwa: Ngabo Tonny